Add parallel Print Page Options

Okwawula Bakabona

29 “Bino by’onookola okwawula Alooni ne batabani be okubafuula bakabona balyoke bampeereze. Ojja kulaba ente ya seddume emu ento, n’endiga ennume ento bbiri, zonna nga teziriiko kamogo. (A)Era onookola mu buwunga bw’eŋŋaano ennungi emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne zikkeeke enkole n’amafuta ag’omuzeeyituuni ezitali nzimbulukuse, n’obusukuuti obw’oluwewere obutaliimu kizimbulukusa naye nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni. Obiteeke mu kibbo kimu obireete awamu n’ente n’endiga ebbiri. (B)Leeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, obanaaze n’amazzi. (C)Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi; (D)omusibe n’ekitambaala ku mutwe olyoke otereeze bulungi engule entukuvu ku kitambaala eky’oku mutwe. (E)Ddira amafuta ag’okwawula ogafuke ku mutwe gwe, omwawule. Leeta batabani be obambaze amakooti, (F)obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.

Ekiweebwayo olw’Ebibi

10 “Onooleeta ente eyo ento mu maaso g’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Alooni ne batabani be banaagikwatako ku mutwe, 11 n’olyoka ogittira awo awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 12 (G)Onoddira omusaayi ogw’ente eyo omutonotono, n’ogusiiga n’olugalo lwo ku mayembe ag’oku kyoto; omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe wansi w’ekyoto. 13 (H)Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto. 14 (I)Naye ennyama y’ente eyo n’eddiba lyayo, n’obusa bwayo, byokere ebweru w’olusiisira. Ekyo ky’ekiweebwayo olw’ekibi.

Ekiweebwayo Ekyokye

15 “Kwata endiga zombi, Alooni ne batabani be banaakwatanga ku mutwe gw’endiga emu; 16 otte endiga eyo, n’oddira omusaayi gwayo n’ogumansa buli wantu ku kyoto. 17 Onoosalaasala endiga eyo mu bifi, onaaze eby’omunda byayo n’amagulu gaayo; obisse wamu n’ebifi n’omutwe, 18 (J)endiga yonna ogyokere ku kyoto. Ekyo ky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokye, eky’akawoowo akasanyusa, nga kiweebwayo ku muliro eri Mukama.

Ekiweebwayo ku Kwawulibwa

19 (K)“Onoddira endiga endala, Alooni ne batabani be ne bassa emikono ku mutwe gwayo; 20 onoogitta, n’oddira ku musaayi gwayo n’ogusiiga ku kasongezo k’okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku busongezo bw’amatu ga batabani be aga ddyo, ne ku binkumu by’emikono gyabwe egya ddyo, ne ku bigere byabwe ebisajja ebya ddyo; omusaayi ogunaasigalawo ogumansire ku kyoto okukyetooloola. 21 (L)Onoddira ku musaayi oguli ku kyoto, oddire ne ku mafuta ag’okwawula, obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, era ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo Alooni ne batabani be bajja kutukuzibwa awamu n’ebyambalo byabwe.

22 “Onoggya ku ndiga eyo amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu agabikka eby’omu lubuto ne ku kibumba, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko, n’ekisambi ekya ddyo; kubanga eyo y’endiga ey’okukozesa mu kwawula bakabona. 23 Era olabe mu kibbo ekirimu ebitali bizimbulukuse ebiri awali Mukama oggyemu omugaati gumu, ne keeke emu okuli amafuta ag’omuzeeyituuni, n’akasukuuti ak’oluwewere; 24 (M)ebyo byonna obikwase Alooni ne batabani be, babiwuubire awali Mukama ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 25 Onoobibaggyako, n’obyokera ku kyoto ng’obyongera ku kiweebwayo ekyokebwa, mulyoke muveemu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama; kye kiweebwayo eri Mukama ekyokye mu muliro. 26 (N)Era onoddira ekifuba ky’endiga y’okwawulibwa kwa Alooni, okiwuube ng’ekiweebwayo eri Mukama ekiwuubibwa; ogwo gwe gunaaba omugabo gwo. 27 (O)Onootukuza ekifuba eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’ekisambi eky’omugabo gwa bakabona era nga nakyo kiwuubibwa ekiva ku ndiga y’okwawulibwa, nga bwe guli omugabo gwa Alooni ne batabani be. 28 (P)Gunaabanga mugabo gwa Alooni ne batabani be, nga guva mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna; kubanga gwe mugabo gwa bakabona ogunaavanga ku kiweebwayo ky’abaana ba Isirayiri eky’emirembe, nga kye kiweebwayo kyabwe eri Mukama.

29 (Q)“Ebyambalo bya Alooni ebitukuvu, batabani be, be banaabisikiranga, era mwe banaafukirwangako amafuta, era mwe banaayawulirwanga. 30 (R)Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.

Emmere ku Kwawulibwa

31 “Ojja kuddira endiga y’okwawulibwa, ofumbe ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu; 32 (S)Alooni ne batabani be balye ku nnyama y’endiga eyo, ne ku mugaati oguli mu kibbo, nga bali ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 33 (T)Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 (U)Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.

35 “Bwe kutyo okwawulibwa kwa Alooni ne batabani be bw’onookukola nga bwe nkulagidde. Omukolo gwonna gujja kumala ennaku musanvu; 36 (V)era buli lunaku ojja kuwaayo seddume y’ente emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi, olw’okusonyiyibwa. Waayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okifukeko amafuta, okitukuze. 37 (W)Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

38 (X)“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 (Y)Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40 Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

42 (Z)“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe. 43 (AA)Era awo we nnaasisinkana abaana ba Isirayiri, ekifo ekyo ne kitukuzibwa nga kijjudde ekitiibwa kyange.

44 (AB)“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona. 45 (AC)Bwe ntyo ndyoke mbeere mu baana ba Isirayiri era mbeere Katonda waabwe. 46 (AD)Awo banaamanya nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri ndyoke mbeerenga mu bo. Nze Mukama Katonda waabwe.”

Consecration of the Priests(A)

29 “This is what you are to do to consecrate(B) them, so they may serve me as priests: Take a young bull and two rams without defect.(C) And from the finest wheat flour make round loaves without yeast, thick loaves without yeast and with olive oil mixed in, and thin loaves without yeast and brushed with olive oil.(D) Put them in a basket and present them along with the bull and the two rams.(E) Then bring Aaron and his sons to the entrance to the tent of meeting and wash them with water.(F) Take the garments(G) and dress Aaron with the tunic, the robe of the ephod, the ephod itself and the breastpiece. Fasten the ephod on him by its skillfully woven waistband.(H) Put the turban(I) on his head and attach the sacred emblem(J) to the turban. Take the anointing oil(K) and anoint him by pouring it on his head. Bring his sons and dress them in tunics(L) and fasten caps on them. Then tie sashes on Aaron and his sons.[a](M) The priesthood is theirs by a lasting ordinance.(N)

“Then you shall ordain Aaron and his sons.

10 “Bring the bull to the front of the tent of meeting, and Aaron and his sons shall lay their hands on its head.(O) 11 Slaughter it in the Lord’s presence(P) at the entrance to the tent of meeting. 12 Take some of the bull’s blood and put it on the horns(Q) of the altar with your finger, and pour out the rest of it at the base of the altar.(R) 13 Then take all the fat(S) on the internal organs,(T) the long lobe of the liver, and both kidneys with the fat on them, and burn them on the altar. 14 But burn the bull’s flesh and its hide and its intestines(U) outside the camp.(V) It is a sin offering.[b]

15 “Take one of the rams,(W) and Aaron and his sons shall lay their hands on its head.(X) 16 Slaughter it and take the blood and splash it against the sides of the altar. 17 Cut the ram into pieces and wash(Y) the internal organs and the legs, putting them with the head and the other pieces. 18 Then burn the entire ram on the altar. It is a burnt offering to the Lord, a pleasing aroma,(Z) a food offering presented to the Lord.

19 “Take the other ram,(AA) and Aaron and his sons shall lay their hands on its head.(AB) 20 Slaughter it, take some of its blood and put it on the lobes of the right ears of Aaron and his sons, on the thumbs of their right hands, and on the big toes of their right feet.(AC) Then splash blood against the sides of the altar.(AD) 21 And take some blood(AE) from the altar and some of the anointing oil(AF) and sprinkle it on Aaron and his garments and on his sons and their garments. Then he and his sons and their garments will be consecrated.(AG)

22 “Take from this ram the fat,(AH) the fat tail, the fat on the internal organs, the long lobe of the liver, both kidneys with the fat on them, and the right thigh. (This is the ram for the ordination.) 23 From the basket of bread made without yeast, which is before the Lord, take one round loaf, one thick loaf with olive oil mixed in, and one thin loaf. 24 Put all these in the hands of Aaron and his sons and have them wave them before the Lord as a wave offering.(AI) 25 Then take them from their hands and burn them on the altar along with the burnt offering for a pleasing aroma to the Lord, a food offering presented to the Lord.(AJ) 26 After you take the breast of the ram for Aaron’s ordination, wave it before the Lord as a wave offering, and it will be your share.(AK)

27 “Consecrate those parts of the ordination ram that belong to Aaron and his sons:(AL) the breast that was waved and the thigh that was presented. 28 This is always to be the perpetual share from the Israelites for Aaron and his sons. It is the contribution the Israelites are to make to the Lord from their fellowship offerings.(AM)

29 “Aaron’s sacred garments(AN) will belong to his descendants so that they can be anointed and ordained in them.(AO) 30 The son(AP) who succeeds him as priest and comes to the tent of meeting to minister in the Holy Place is to wear them seven days.

31 “Take the ram(AQ) for the ordination and cook the meat in a sacred place.(AR) 32 At the entrance to the tent of meeting, Aaron and his sons are to eat the meat of the ram and the bread(AS) that is in the basket. 33 They are to eat these offerings by which atonement was made for their ordination and consecration. But no one else may eat(AT) them, because they are sacred. 34 And if any of the meat of the ordination ram or any bread is left over till morning,(AU) burn it up. It must not be eaten, because it is sacred.

35 “Do for Aaron and his sons everything I have commanded you, taking seven days to ordain them. 36 Sacrifice a bull each day(AV) as a sin offering to make atonement(AW). Purify the altar by making atonement for it, and anoint it to consecrate(AX) it. 37 For seven days make atonement for the altar and consecrate it. Then the altar will be most holy, and whatever touches it will be holy.(AY)

38 “This is what you are to offer on the altar regularly each day:(AZ) two lambs a year old. 39 Offer one in the morning and the other at twilight.(BA) 40 With the first lamb offer a tenth of an ephah[c] of the finest flour mixed with a quarter of a hin[d] of oil(BB) from pressed olives, and a quarter of a hin of wine as a drink offering.(BC) 41 Sacrifice the other lamb at twilight(BD) with the same grain offering(BE) and its drink offering as in the morning—a pleasing aroma, a food offering presented to the Lord.

42 “For the generations to come(BF) this burnt offering is to be made regularly(BG) at the entrance to the tent of meeting,(BH) before the Lord. There I will meet you and speak to you;(BI) 43 there also I will meet with the Israelites, and the place will be consecrated by my glory.(BJ)

44 “So I will consecrate the tent of meeting and the altar and will consecrate Aaron and his sons to serve me as priests.(BK) 45 Then I will dwell(BL) among the Israelites and be their God.(BM) 46 They will know that I am the Lord their God, who brought them out of Egypt(BN) so that I might dwell among them. I am the Lord their God.(BO)

Footnotes

  1. Exodus 29:9 Hebrew; Septuagint on them
  2. Exodus 29:14 Or purification offering; also in verse 36
  3. Exodus 29:40 That is, probably about 3 1/2 pounds or about 1.6 kilograms
  4. Exodus 29:40 That is, probably about 1 quart or about 1 liter