Add parallel Print Page Options

(A)“Okuva leero omwezi[a] guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. (B)Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. (C)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. (D)Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 10 (E)Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 11 (F)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[b], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:2 Ekiseera ekyo kiri wakati w’ekitundu ekisembayo eky’omwezi gwa Maaki n’ekitundu ekisooka eky’omwezi gwa Apuli.
  2. 12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda.

Ebiragiro by’Embaga ey’Okuyitako

43 (A)Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako:

“Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako. 44 (B)Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa; 45 (C)naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.

46 (D)“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu. 47 Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.

48 (E)“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako. 49 (F)Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”

Read full chapter

(A)Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa. (B)Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo. Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”

Read full chapter

Embaga ey’Okuyitako

16 (A)Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. (B)Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. (C)Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. (D)Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.

Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, (E)wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. (F)Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. (G)Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.

Read full chapter