Add parallel Print Page Options

Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani

13 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”

Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.

Amannya gaabwe ge gano:

Eyava mu kika kya Lewubeeni yali Sammuwa mutabani wa Zakula.

Eyava mu kika kya Simyoni yali Safati mutabani wa Kooli.

(B)Eyava mu kika kya Yuda yali Kalebu mutabani wa Yefune.

Eyava mu kika kya Isakaali yali Igali mutabani wa Yusufu.

Eyava mu kika kya Efulayimu yali Koseya mutabani wa Nuuni.

Eyava mu kika kya Benyamini yali Paluti mutabani wa Lafu.

10 Eyava mu kika kya Zebbulooni yali Gadyeri mutabani wa Sodi.

11 Eyava mu kika kya Manase, ky’ekika kya Yusufu, yali Gaadi mutabani wa Susi.

12 Eyava mu kika kya Ddaani yali Ammiyeri mutabani wa Gemali.

13 Eyava mu kika kya Aseri yali Sesula mutabani wa Mikaeri.

14 Eyava mu kika kya Nafutaali yali Nakabi mutabani wa Vofesi.

15 Eyava mu kika kya Gaadi yali Geweri mutabani wa Maki.

16 (C)Ago ge mannya ag’abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta n’okwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.

17 (D)Musa n’abatuma okuketta n’okwetegereza ensi ya Kanani, n’abagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi ey’ensozi. 18 Mwetegerezenga ensi nga bw’efaanana, n’abantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono. 19 Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo. 20 (E)Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala eby’omu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.

21 (F)Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi. 22 (G)Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa. 23 Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli[a] ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini. 24 Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.

Abakessi Bakomawo

25 Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi. 26 (H)Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo. 27 (I)Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu. 28 (J)Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki. 29 Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”

30 Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”

31 (K)Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.” 32 (L)Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 33 (M)Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”

Footnotes

  1. 13:23 Esukoli Kitegeeza kiwagu. Laba ne mu lunny 24

Exploring Canaan

13 The Lord said to Moses, “Send some men to explore(A) the land of Canaan,(B) which I am giving to the Israelites.(C) From each ancestral tribe(D) send one of its leaders.”

So at the Lord’s command Moses sent them out from the Desert of Paran. All of them were leaders of the Israelites.(E) These are their names:

from the tribe of Reuben, Shammua son of Zakkur;

from the tribe of Simeon, Shaphat son of Hori;

from the tribe of Judah, Caleb son of Jephunneh;(F)

from the tribe of Issachar, Igal son of Joseph;

from the tribe of Ephraim, Hoshea son of Nun;(G)

from the tribe of Benjamin, Palti son of Raphu;

10 from the tribe of Zebulun, Gaddiel son of Sodi;

11 from the tribe of Manasseh (a tribe of Joseph), Gaddi son of Susi;

12 from the tribe of Dan, Ammiel son of Gemalli;

13 from the tribe of Asher, Sethur son of Michael;

14 from the tribe of Naphtali, Nahbi son of Vophsi;

15 from the tribe of Gad, Geuel son of Maki.

16 These are the names of the men Moses sent to explore(H) the land. (Moses gave Hoshea son of Nun(I) the name Joshua.)(J)

17 When Moses sent them to explore Canaan,(K) he said, “Go up through the Negev(L) and on into the hill country.(M) 18 See what the land is like and whether the people who live there are strong or weak, few or many. 19 What kind of land do they live in? Is it good or bad? What kind of towns do they live in? Are they unwalled or fortified? 20 How is the soil? Is it fertile or poor? Are there trees in it or not? Do your best to bring back some of the fruit of the land.(N)” (It was the season for the first ripe grapes.)(O)

21 So they went up and explored the land from the Desert of Zin(P) as far as Rehob,(Q) toward Lebo Hamath.(R) 22 They went up through the Negev and came to Hebron,(S) where Ahiman, Sheshai and Talmai,(T) the descendants of Anak,(U) lived. (Hebron had been built seven years before Zoan in Egypt.)(V) 23 When they reached the Valley of Eshkol,[a](W) they cut off a branch bearing a single cluster of grapes. Two of them carried it on a pole between them, along with some pomegranates(X) and figs.(Y) 24 That place was called the Valley of Eshkol because of the cluster of grapes the Israelites cut off there. 25 At the end of forty days(Z) they returned from exploring the land.(AA)

Report on the Exploration

26 They came back to Moses and Aaron and the whole Israelite community at Kadesh(AB) in the Desert of Paran.(AC) There they reported to them(AD) and to the whole assembly and showed them the fruit of the land.(AE) 27 They gave Moses this account: “We went into the land to which you sent us, and it does flow with milk and honey!(AF) Here is its fruit.(AG) 28 But the people who live there are powerful, and the cities are fortified and very large.(AH) We even saw descendants of Anak(AI) there.(AJ) 29 The Amalekites(AK) live in the Negev; the Hittites,(AL) Jebusites(AM) and Amorites(AN) live in the hill country;(AO) and the Canaanites(AP) live near the sea and along the Jordan.(AQ)

30 Then Caleb(AR) silenced the people before Moses and said, “We should go up and take possession of the land, for we can certainly do it.”

31 But the men who had gone up with him said, “We can’t attack those people; they are stronger than we are.”(AS) 32 And they spread among the Israelites a bad report(AT) about the land they had explored. They said, “The land we explored devours(AU) those living in it. All the people we saw there are of great size.(AV) 33 We saw the Nephilim(AW) there (the descendants of Anak(AX) come from the Nephilim). We seemed like grasshoppers(AY) in our own eyes, and we looked the same to them.”

Footnotes

  1. Numbers 13:23 Eshkol means cluster; also in verse 24.