Add parallel Print Page Options

29 Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”

Read full chapter

(A)n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 10 (B)Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 11 (C)Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.”

Read full chapter