Add parallel Print Page Options

(A)Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama,
    mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo.
Alituyigiriza by’ayagala
    tulyoke tutambulire mu makubo ge.”
Alisinziira mu Sayuuni okuwa abantu etteeka lye,
    n’ekigambo kya Mukama kiriva mu Yerusaalemi.
(B)Aliramula amawanga
    atereeze ensonga wakati w’amawanga gakirimaanyi ag’ewala.
Baliddira ebitala byabwe ne babiweesaamu enkumbi,
    n’amafumu gaabwe ne bagaweesaamu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
    so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.
(C)Buli muntu aliba mu ddembe wansi w’omuzabbibu gwe
    ne mu mutiini gwe.
Tewalibaawo abatiisa
    kubanga akamwa ka Mukama Ayinzabyonna ke kakyogedde.

Read full chapter