Add parallel Print Page Options

17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 (A)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 (B)Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu.

Read full chapter