Malaki 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
Read full chapter
Isaaya 51:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Batabani bo bazirise,
bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
Isaaya 66:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
Ekyamateeka Olwokubiri 4:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.