Luusi 3:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika[a].”
Read full chapterFootnotes
- 3:9 Omusajja okuddira olugoye lwe n’alubikka omukyala, kaali kabonero akalaga ng’omusajja oyo bwe yeetegese okuwasa omukyala oyo
Yeremiya 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
mu nsi etali nnime.
Koseya 2:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
Koseya 2:19-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Era ndikwogereza ennaku zonna,
ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (B)Ndikwogereza mu bwesigwa,
era olimanya Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.