Add parallel Print Page Options

Abayisirayiri balinnyibwa ku nfeete mu kibuga Ayi

(A)Abayisirayiri ne basobya bwe baatwala ku bintu ebyali ebiwonge; Akani mutabani wa Kaluni muzzukulu wa Zabudi era muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda, ne yeetwalira ebimu ku bintu ebyo: bw’atyo Mukama n’asunguwalira nnyo eggwanga lya Isirayiri.

(B)Yoswa n’asindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, n’abakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.

Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga ab’omu Ayi si bangi.” (C)Abayisirayiri ng’enkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde (D)okubaggya ku wankaaki w’ekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ng’amakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.

(E)Yoswa n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso g’Essanduuko ya Mukama okuzibya obudde. (F)Yoswa n’agamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate n’obaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi n’akatono! Ayi Mukama, Isirayiri adduse abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano! (G)Abakanani n’abali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”

10 Mukama n’agamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka? 11 (H)Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba. 12 (I)Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.

13 (J)“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olw’enkya bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.

14 (K)“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama ky’anaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, n’oluggya Mukama lw’anaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gy’anaalondamu enejja muntu ku muntu. 15 (L)Naye oyo anaasangibwa n’ebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye n’ebyo byonna by’alina, kubanga amenye endagaano ya Mukama n’avumaganya Isirayiri.’ ”

Akani Akubwa Amayinja

16 Yoswa yakeera nnyo n’akuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era n’asembeza enju ya Yuda: 17 (M)n’alondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera n’alondamu Zabudi n’ennyumba ye: 18 ate mu bo n’alondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera ow’omu kika kya Yuda.

19 (N)Yoswa n’agamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire ky’okoze, tonkisa.”

20 Akani n’addamu nti, “Mazima nayonoona eri Mukama Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola. 21 (O)Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali[a] n’ensimbi, n’effeeza ne zaabu ne mbyegomba, bwe ntyo ne mbitwala ne mbisimira mu ttaka mu weema yange.”

22 Yoswa n’atuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ng’abisimidde mu ttaka. 23 Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa n’Abayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.

24 (P)Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, n’ekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, n’ente ze n’endogoyi ze, n’endiga ze, n’eweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli. 25 (Q)Yoswa n’abuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bw’otyo olwa leero naawe onookiraba Mukama ky’anaakukola.”

Abayisirayiri bonna ne bayiikira Akani, n’abaana be n’ebintu bye ne babakuba amayinja ne babatta era ne babakumako omuliro. 26 (R)Ne balyoka babatuumako amayinja, n’okutuusa kaakano entuumu y’amayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama n’alekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli n’okutuusa kaakano.

Footnotes

  1. 7:21 Sinaali Mu Lwebbulaniya, Sinaali kyekimu ne Babulooni.

Defeat at Ai

But the children of Israel [a]committed a (A)trespass regarding the (B)accursed[b] things, for (C)Achan the son of Carmi, the son of [c]Zabdi, the son of Zerah, of the tribe of Judah, took of the accursed things; so the anger of the Lord burned against the children of Israel.

Now Joshua sent men from Jericho to Ai, which is beside Beth Aven, on the east side of Bethel, and spoke to them, saying, “Go up and spy out the country.” So the men went up and spied out Ai. And they returned to Joshua and said to him, “Do not let all the people go up, but let about two or three thousand men go up and attack Ai. Do not weary all the people there, for the people of Ai are few.” So about three thousand men went up there from the people, (D)but they fled before the men of Ai. And the men of Ai struck down about thirty-six men, for they chased them from before the gate as far as Shebarim, and struck them down on the descent; therefore (E)the[d] hearts of the people melted and became like water.

Then Joshua (F)tore his clothes, and fell to the earth on his face before the ark of the Lord until evening, he and the elders of Israel; and they (G)put dust on their heads. And Joshua said, “Alas, Lord [e]God, (H)why have You brought this people over the Jordan at all—to deliver us into the hand of the Amorites, to destroy us? Oh, that we had been content, and dwelt on the other side of the Jordan! O Lord, what shall I say when Israel turns its [f]back before its enemies? For the Canaanites and all the inhabitants of the land will hear it, and surround us, and (I)cut off our name from the earth. Then (J)what will You do for Your great name?”

The Sin of Achan

10 So the Lord said to Joshua: “Get up! Why do you lie thus on your face? 11 Israel has sinned, and they have also transgressed My covenant which I commanded them. (K)For they have even taken some of the [g]accursed things, and have both stolen and (L)deceived; and they have also put it among their own stuff. 12 (M)Therefore the children of Israel could not stand before their enemies, but turned their backs before their enemies, because (N)they have become doomed to destruction. Neither will I be with you anymore, unless you destroy the accursed from among you. 13 Get up, (O)sanctify[h] the people, and say, (P)‘Sanctify yourselves for tomorrow, because thus says the Lord God of Israel: “There is an accursed thing in your midst, O Israel; you cannot stand before your enemies until you take away the accursed thing from among you.” 14 In the morning therefore you shall be brought according to your tribes. And it shall be that the tribe which (Q)the Lord takes shall come according to families; and the family which the Lord takes shall come by households; and the household which the Lord takes shall come man by man. 15 (R)Then it shall be that he who is taken with the accursed thing shall be burned with fire, he and all that he has, because he has (S)transgressed[i] the covenant of the Lord, and because he (T)has done a disgraceful thing in Israel.’ ”

16 So Joshua rose early in the morning and brought Israel by their tribes, and the tribe of Judah was taken. 17 He brought the clan of Judah, and he took the family of the Zarhites; and he brought the family of the Zarhites man by man, and Zabdi was taken. 18 Then he brought his household man by man, and Achan the son of Carmi, the son of Zabdi, the son of Zerah, of the tribe of Judah, (U)was taken.

19 Now Joshua said to Achan, “My son, I beg you, (V)give glory to the Lord God of Israel, (W)and make confession to Him, and (X)tell me now what you have done; do not hide it from me.”

20 And Achan answered Joshua and said, “Indeed (Y)I have sinned against the Lord God of Israel, and this is what I have done: 21 When I saw among the spoils a beautiful Babylonian garment, two hundred shekels of silver, and a wedge of gold weighing fifty shekels, I [j]coveted them and took them. And there they are, hidden in the earth in the midst of my tent, with the silver under it.”

22 So Joshua sent messengers, and they ran to the tent; and there it was, hidden in his tent, with the silver under it. 23 And they took them from the midst of the tent, brought them to Joshua and to all the children of Israel, and laid them out before the Lord. 24 Then Joshua, and all Israel with him, took Achan the son of Zerah, the silver, the garment, the wedge of gold, his sons, his daughters, his oxen, his donkeys, his sheep, his tent, and (Z)all that he had, and they brought them to (AA)the Valley of Achor. 25 And Joshua said, (AB)“Why have you troubled us? The Lord will trouble you this day.” (AC)So all Israel stoned him with stones; and they burned them with fire after they had stoned them with stones.

26 Then they (AD)raised over him a great heap of stones, still there to this day. So (AE)the Lord turned from the fierceness of His anger. Therefore the name of that place has been called (AF)the Valley of [k]Achor to this day.

Footnotes

  1. Joshua 7:1 acted unfaithfully
  2. Joshua 7:1 devoted
  3. Joshua 7:1 Zimri, 1 Chr. 2:6
  4. Joshua 7:5 the people’s courage failed
  5. Joshua 7:7 Heb. YHWH, Lord
  6. Joshua 7:8 Lit. neck
  7. Joshua 7:11 devoted
  8. Joshua 7:13 set apart
  9. Joshua 7:15 overstepped
  10. Joshua 7:21 desired
  11. Joshua 7:26 Lit. Trouble