Add parallel Print Page Options

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 (A)Mukama kyava agamba nti,
    “Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
    Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 (B)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (C)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

15 (D)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
    mulangirire okusiiba okutukuvu.
    Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16 (E)Mukuŋŋaanye abantu bonna.
    Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.
Muyite abakulu abakulembeze.
    Muleete abaana abato
    n’abo abakyali ku mabeere.
N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,
    n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali.
17 (F)Bakabona abaweereza ba Mukama
    bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
    abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
    era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
    ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Mukama Asaasira Abantu Be

18 (G)Awo Mukama n’akwatirwa ensi ye ekisa,
    n’asaasira abantu be.

Read full chapter