Isaaya 9:1-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omulokozi Atuzaaliddwa
9 (A)Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
2 (B)Abantu abaatambuliranga mu kizikiza
balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
omusana gubaakidde.
3 Oyazizza eggwanga,
obongedde essanyu,
basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,
ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.[a]
4 (C)Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,
omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,
n’ekiti eky’oku kibegabega kye,
n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5 (D)Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo
na buli kyambalo ekibunye omusaayi,
biriba bya kwokebwa,
bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6 (E)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7 (F)Okufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.
Footnotes
- 9:3 Kino kyogera ku Gidyoni bwe yawanguka Abamidiyaani
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.