Isaaya 46-47
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Bakatonda b’e Babulooni
46 (A)Beri avunnama,
Nebo akutamye!
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.
Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 (B)Bikutamye byonna bivuunamye.
Tebiyinza kuyamba ku mbeera,
byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 (C)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 (D)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 (E)“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya
era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 (F)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
ne bagwa wansi ne basinza.
7 (G)Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.
N’ayimirira awo,
n’atava mu kifo kye.
Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,
tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 (H)“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.
Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 (I)Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.
Kubanga nze Katonda, teri mulala.
Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 (J)alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.
Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,
nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo
era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.
Omusajja[a] ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.
Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.
Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 (K)Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,
abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 (L)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
tebuli wala.
N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
Babulooni Esalirwa Omusango
47 (M)“Omuwala wa Babulooni embeerera,
kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 (N)Ddira olubengo ose obutta.
Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
oyite mu mazzi.
3 (O)Obwereere bwo bulibikkulwa;
obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4 (P)Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5 (Q)“Tuula mu kasirise
yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
afuga obwakabaka obungi.
6 (R)Nnali nsunguwalidde abantu bange,
ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 (S)Wayogera nti,
‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8 (T)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
Siribeera nnamwandu
wadde okufiirwa abaana.’
9 (U)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
eky’okufiirwa abaana
n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (V)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (W)Kyokka ensasagge erikujjira
era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12 (X)“Weeyongere nno n’obulogo bwo
n’obufumu bwo obwayinga obungi,
bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 (Y)Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 (Z)Laba, bali ng’ebisusunku
era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
wadde omuliro ogw’okwota!
15 (AA)Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;
b’obonyeebonye nabo
b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
era tewali n’omu ayinza okukulokola.”
Footnotes
- 46:11 Kino kyogera ku Kuulo
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.