Add parallel Print Page Options

(A)Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,
    eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.[a]
Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane
    okulangirira ettendo lya Katonda.
(B)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
    endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
    era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

Read full chapter

Footnotes

  1. 60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani

(A)Awo malayika omulala eyalina ekyoterezo ekya zaabu n’ajja n’ayimirira okuliraana ekyoto, n’aweebwa obubaane bungi nnyo abuweeyo, wamu n’okusaba kw’abatukuvu bonna, ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe ey’obwakabaka.

Read full chapter