Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
    akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
    n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
    okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

Read full chapter

12 (A)“ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta.

Read full chapter

(A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,
    mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.

Read full chapter

136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

34 (A)Weebaze Mukama kubanga mulungi;
    era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Read full chapter

13 (A)Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti,

“Mulungi,
    kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”

Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.

Read full chapter

(A)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(B)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Read full chapter