Add parallel Print Page Options

25 (A)Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
    n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
    Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.

Read full chapter

(A)Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”

Read full chapter

19 (A)“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eyo, ne mbafukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi mu nsi eyo, ne nzita abantu baamu n’ensolo zaabwe,

Read full chapter

(A)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
    Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
    n’enjazi n’eziyatikayatika.

Read full chapter

(A)“ ‘Naye ne banjeemera, ne bagaana okumpuliriza; tebaggyawo bintu eby’omuzizo mu maaso gaabwe, newaakubadde okuleka bakatonda abalala ab’e Misiri. Kyenava njogera nti ndibabonerereza mu Misiri.

Read full chapter

21 “ ‘Naye abaana banjeemera; tebaagoberera biragiro byange newaakubadde okukwata amateeka gange, ebyandiyinzizza okulokola omuntu abigondera, ne Ssabbiiti zange ne batazitukuza. Kyenava njogera nti ndibasunguwalira mu ddungu.

Read full chapter

19 (A)Naye mbasaasaanyiza mu mawanga, ne basaasaana mu nsi. Era nabasalira omusango ng’empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali.

Read full chapter