Add parallel Print Page Options

13 (A)Mukama, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,
    era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,
n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.
    Era aliwangula abalabe be.

Read full chapter

16 (A)Mukama aliwuluguma ng’ayima ku Sayuuni;
    alibwatuka n’eddoboozi lye ng’asinziira mu Yerusaalemi.
    Eggulu n’ensi birikankana.
Naye Mukama aliba ekiddukiro ky’abantu be,
    era ekigo ky’abaana ba Isirayiri eky’amaanyi.

Read full chapter

(A)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
    ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
    ndiragira ogusota ne gubalumirayo.

Read full chapter

(A)Ensi erikoma ddi okwonooneka,
    n’omuddo mu buli nnimiro okukala?
Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi,
    ensolo n’ebinyonyi bizikiridde,
kubanga abantu bagamba nti,
    “Katonda taalabe binaatutuukako.”

Read full chapter