Isaaya 35:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5 (B)Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6 (C)omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
Isaaya 61:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amawulire Amalungi ag’Obulokozi
61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
Lukka 4:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
Lukka 4:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.