Add parallel Print Page Options

11 (A)Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye,
    era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa,
tolibaako ky’okungula
    wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.

Read full chapter

33 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,
    mu kiseera w’analinnyiririrwa;
    ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”

Read full chapter

13 (A)Kozesa oluwabyo lwo,
    kubanga ekiseera eky’amakungula kituuse.
Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero
    okutuusa envinnyo lw’ekulukuta,
    ekibi kyabwe kinene nnyo.”

Read full chapter

30 (A)Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”

Read full chapter