Add parallel Print Page Options

Ettabi Eririva ku Yese

11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
    ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
(B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
(C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.

Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
    oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
(D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
    era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
    era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
(E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
    n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.

Read full chapter

(A)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
    era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
    tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.

Read full chapter

(A)“Ennaku zijja,
    lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
    akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
(B)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
    ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
    Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.

Read full chapter

(A)“ ‘Kale wulira, Yoswa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, abantu kw’otegeerera eby’omu maaso, laba ndireeta omuweereza wange, ye Ttabi.

Read full chapter

12 (A)Mugambe nti, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Laba omuntu erinnya lye ye Ttabi; alirokera mu kifo kye, azimbe yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

16 (A)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.

Read full chapter