Add parallel Print Page Options

(A)Ensi yammwe esigadde matongo,
    ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
    Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
    era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.
(B)Omuwala wa Sayuuni alekeddwa
    ng’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,
ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu[b],
    ng’ekibuga ekizingiziddwa.
(C)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:7 Kino kyogera ku kulumbibwa kw’abantu b’omu Bwasuli mu biro bya Sennakeribu (2Bk 18:13).
  2. 1:8 emyungu ziba bika bya nsujju; emu eyitibwa omungu

12 (A)okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu,
    era ng’ensi esigadde matongo.

Read full chapter

(A)Enguudo ennene tezitambulirwako,
    tewali azitambulirako.
Endagaano yamenyebwa,
    n’abajulizi baayo banyoomebwa,
    tewali assibwamu kitiibwa.

Read full chapter

Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya

(A)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo.

Read full chapter

18 (A)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
    mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
    n’abantu baamu okuba okujaguza.

Read full chapter