Add parallel Print Page Options

15 (A)okutuusa Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu,
    n’eddungu ne lifuuka ennimiro engimu,
    n’ennimiro engimu n’erabika ng’ekibira.
16 Obwenkanya bulituula mu ddungu,
    n’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro engimu.
17 (B)Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,
    n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.
18 (C)Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe,
    mu maka amateefu
    mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.
19 (D)Omuzira ne bwe guligwa ne gukuba ekibira okukimalawo,
    n’ekibuga ne kiggirwawo ddala,
20 (E)ggwe oliraba omukisa,
    ng’osiga ensigo y’oku migga gyonna,
    n’ente zo n’endogoyi zo ne zirya nga zeeyagala.

Read full chapter