Add parallel Print Page Options

19 (A)Ensi emenyeddwamenyeddwa,
    ensi eyawuliddwamu,
    ensi ekankanira ddala.

Read full chapter

(A)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
    n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
    ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
    ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.

Read full chapter

(A)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
    Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
    obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.

Read full chapter

10     (A)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
    obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
    ne busitula amayengo gaayo waggulu.

Read full chapter

(A)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu.

Read full chapter

(A)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

Abafu Balamulwa

11 (A)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.

Read full chapter