Add parallel Print Page Options

33 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ku lunaku lwe ndibanaalizaako ebibi byammwe byonna, abantu balidda mu bibuga byammwe n’ebifulukwa biriddaabirizibwa.

Read full chapter

17 (A)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
    era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (B)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
    Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
    balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
    ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 (C)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
    kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
    banaakubeeranga wala.
20 (D)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
    lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
    tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (E)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
    ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
    Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
    Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
    naye ate bano, baava wa?’ ”

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 (F)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
    era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
    ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (G)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

Read full chapter