Ezeekyeri 1:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
Read full chapter
Ezeekyeri 8:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)N’agolola ekyalabika ng’omukono n’akwata enviiri zange. Omwoyo n’ansitula wakati w’ensi n’eggulu mu kwolesebwa kwa Katonda n’antwala e Yerusaalemi ku mulyango ogw’oluggi olutunuulira Obukiikakkono olw’oluggya olw’omunda ogutunuulira Obukiikakkono, awaali bakatonda abalala abaleetera Katonda obuggya.
Read full chapter
Ezeekyeri 11:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.
Read full chapter
Lukka 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okukemebwa kwa Yesu
4 (A)Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu,
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 8:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu.
Read full chapter
Yeremiya 7:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu.
Read full chapter
Yeremiya 8:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.
Read full chapter
Ezeekyeri 40:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu
40 (A)Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.