Okuva 7:14-10:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amazzi Gafuuka Omusaayi
14 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira[a]. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 (B)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 (C)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (D)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”
19 (E)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”
20 (F)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.
22 (G)Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.
25 Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.
Ebikere Bibuna mu Bamisiri
8 (H)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. 2 Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna. 3 (I)Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa. 4 Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”
5 (J)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ” 6 (K)Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri. 7 (L)Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri.
8 (M)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.” 9 Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
10 (N)Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe. 11 Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
12 Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo. 13 Mukama n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro. 14 Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu. 15 (O)Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
Ensekere Zibuna mu Bamisiri
16 Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ” 17 (P)Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere. 18 (Q)Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
19 (R)Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
Ensowera Zibuna mu Bamisiri
20 (S)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. 21 Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
22 (T)“ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi. 23 Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ”
24 (U)Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.
25 (V)Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.” 26 (W)Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja? 27 (X)Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”
28 (Y)Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.” 29 (Z)Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
30 (AA)Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba Mukama. 31 Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu. 32 (AB)Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.
Nsotoka mu Magana ag’Abamisiri
9 (AC)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze. 2 Singa ogaana okubakkiriza okugenda, n’oyongera okubakuumira wano, 3 (AD)Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga. 4 (AE)Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”
5 Mukama n’alonda ekiseera, n’agamba nti, “Enkya Mukama w’anaakolera ekintu kino mu nsi eno.” 6 (AF)Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa. 7 (AG)Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.
Amayute n’Amabwa mu Bamisiri
8 Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba. 9 (AH)Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”
10 Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. 11 (AI)Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute;[b] kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna. 12 (AJ)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.
Amayinja g’Omuzira Gagwa mu Bamisiri
13 (AK)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze. 14 (AL)Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna. 15 (AM)Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi. 16 (AN)Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna. 17 Kyokka okyekulumbaliza ku bantu bange n’otobakkiriza kugenda, 18 (AO)noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo. 19 Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”
20 (AP)Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe. 21 Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.
22 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.” 23 (AQ)Musa n’ayolekeza omuggo gwe eri eggulu; Mukama n’asindika okubwatuka n’omuzira; laddu ne yakira ku ttaka. Bw’atyo Mukama n’atonnyesa omuzira ku nsi y’e Misiri. 24 Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga. 25 (AR)Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale. 26 (AS)Ekitundu kyokka ekitaatuukwamu muzira, kye kya Goseni, abaana ba Isirayiri gye baabeeranga.
27 (AT)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu. 28 (AU)Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”
29 (AV)Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo. 30 Kyokka mmanyi nga ggwe n’abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”
31 (AW)(Obugoogwa ne sayiri byakubwa ne bizikirizibwa, kubanga sayiri yali ayengera nga n’obugoogwa bumulisizza. 32 Naye eŋŋaano n’omukyere, byo tebyayonoonebwa kubanga byali tebinnayengera.)
33 Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya. 34 Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe. 35 (AX)Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
Enzige Zirya Ebirime by’Abamisiri
10 (AY)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino: 2 (AZ)era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”
3 (BA)Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze. 4 (BB)Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo. 5 (BC)Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro. 6 Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’ ” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.
7 (BD)Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?” 8 (BE)Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?” 9 Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”
10 Falaawo n’abagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe n’abaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka. 11 Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinze[c] Mukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.
12 (BF)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”
13 (BG)Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige. 14 (BH)Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika. 15 (BI)Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.
16 (BJ)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli. 17 (BK)Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.” 18 (BL)Musa n’ava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama. 19 Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri. 20 (BM)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri n’atabakkiriza kugenda.
Ekizikiza Kikwata mu Bamisiri
21 (BN)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika.” 22 (BO)Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu. 23 (BP)Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.
24 (BQ)Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”
25 Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe. 26 Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”
27 (BR)Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka kugenda. 28 Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”
29 (BS)Musa n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba.”
Footnotes
- 7:15 Kiyira Falaawo yagendanga okusinza lubaale w’Omugga Kiyira (kitaawe wa balubaale). Noolwekyo okukwata ku Kiyira, kyali nga kukwata mu liiso lya Misiri lyennyini.
- 9:11 Ebirwadde n’ebibonoobono ebyasooka byali bituuse ku bintu ebisinzibwa, kyokka ekirwadde kino kyali kituuse ku balogo, baleme kuddayo nate kutawanya Musa.
- 10:11 Mu ddiini y’Abamisiri, abasajja bokka be beetabanga mu kusinza. Noolwekyo mu kiseera kino, Falaawo yali awambye abakyala n’abaana.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.