Add parallel Print Page Options

Kabaka alonde ababaka mu buli kitundu mu bwakabaka bwe, bamuleetere abawala abato ababalagavu abalungi mu lubiri lwe e Susani bakuumibwe mu nnyumba y’abakyala. Era Kegayi omulaawe wa Kabaka avunaanyizibwe abawala abo, ng’abawa ne by’okulungiya byonna bye beetaaga.

Read full chapter

15 (A)Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira.

Read full chapter

Okusaba kwa Nekkemiya

(A)Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:

Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri[a] bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,[b]

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:1 Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyaka kyenda mu gumu (91), ng’abaawaŋŋangusibwa bakomyewo; nga mu mwaka 446 bc.
  2. 1:1 Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.

(A)Mu kiseera ekyo Kabaka Akaswero we yafugira mu lubiri e Susani,[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:2 Susani kye kimu ku bibuga ebikulu ebina eby’Obwakabaka. Ebibuga ebirala byali Babulooni, Perusiyapoliisi ne Ekubatoni. Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi.

(A)Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi.

Read full chapter