Ekyamateeka Olwokubiri 4:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekibonerezo olw’Okusinza Bakatonda Abalala
25 (A)“Bw’olimala okuzaala abaana ng’ofunye n’abazzukulu, era nga mu nsi omwo mumazeemu emyaka mingi nga mukaddiye; ne mugenda mweyonoonanga nga mwekolera bakatonda abalala ab’engeri zonna, ne mukolanga ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo ne mumusunguwazanga,
Read full chapter
Mikka 6:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
era olibaako ekivume ky’amawanga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.