Add parallel Print Page Options

Obwesigwa bwa Mukama Katonda Obutajjulukuka

30 (A)Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, (B)n’okyuka n’odda eri Mukama Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, (C)kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza.

Read full chapter

20 (A)Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe
    era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,
    kubanga ddala twayonoona gy’oli.

Read full chapter

(A)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Read full chapter

25 (A)Tokooya bigere byo,
    era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
    sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
    nteekwa okubanoonya.”

Read full chapter

(A)Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene,

Read full chapter

25 (A)Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde
    kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe,
okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno;
    kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”

Read full chapter