Add parallel Print Page Options

Kigambo Aleeta Obulamu

(A)Tubawandiikira ku Kigambo ow’obulamu, eyaliwo okuva ku lubereberye, gwe twawulira, gwe twalaba n’amaaso gaffe, era gwe twakwatako n’engalo zaffe. (B)Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (C)Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo. (D)Era tubawandiikira ebintu bino essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

Okutambulira mu Musana

(E)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono. (F)Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima. (G)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna. (H)Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. (I)Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna. 10 (J)Bwe tugamba nti tetulina kibi, tumufuula mulimba era nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.