Add parallel Print Page Options

25 Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26 Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde.

Read full chapter

Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Read full chapter

35 (A)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (B)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (C)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (D)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (E)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 (F)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (G)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (H)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

Read full chapter

(A)Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

Read full chapter