Add parallel Print Page Options

23 (A)Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.

Read full chapter

(A)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

Read full chapter

19 (A)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
    obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
    Katonda bye yawamba.

Read full chapter

29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

Read full chapter

(A)Era yasalira omusango abaali mu bibuga by’e Sodomu n’e Ggomola bwe yabazikiriza, ne bisirikka mu muliro, bw’atyo n’alaga ebyo ebigenda okutuuka ku buli atatya Katonda.

Read full chapter

(A)Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.

Read full chapter