Add parallel Print Page Options

36 (A)Mukama alikuleka, ggwe ne kabaka wo gw’onoobanga weerondedde n’otwalibwa mu ggwanga eddala ly’otowulirangako, ne bajjajjaabo lye bataamanya, n’oweererezanga eyo bakatonda abalala ab’emiti n’amayinja.

Read full chapter

64 (A)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako.

Read full chapter

19 (A)Kaakano nno, mukama wange kabaka wuliriza ebigambo by’omuweereza wo. Obanga Mukama ye yakusindise okunjigganya, akkirize ekiweebwayo. Naye bwe baba nga baana ba bantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama, kubanga leero bangobye nneme okugabana mu busika bwa Mukama nga bagamba nti, ‘Genda oweereze bakatonda abalala.’

Read full chapter

13 (A)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’

Read full chapter

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(B)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Read full chapter

15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
    ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
    so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
    na buli abyesiga alibifaanana.

Read full chapter