Ekyamateeka Olwokubiri 2:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula.
Read full chapter
Zabbuli 135:10-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (B)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
Amosi 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Nazikiriza Abamoli ku lwabwe
newaakubadde nga baali bawanvu ng’emivule
era nga ba maanyi ng’emyera.
Nazikiriza ebibala ebyali waggulu
okutuuka ku mirandira egyali wansi.
Ekyamateeka Olwokubiri 2:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.