Ebyabaleevi 4:11-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Naye eddiba lya sseddume eyo n’ennyama yaayo yonna, n’omutwe gwayo, n’amagulu gaayo, n’eby’omu nda byayo nga n’ebyenda kwebiri, awamu n’obusa bwayo, 12 (B)ye sseddume yonna, anaagitwalanga wabweru w’olusiisira mu kifo ekiyonjo awayiyibwa evvu ly’ekyoto, anaatindiranga enku n’akuma omuliro n’agyokeranga okwo.
Etteeka ery’Ekiweebwayo ng’Abantu Bonna Boonoonye
13 (C)“ ‘Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe kinaayonoonanga nga tekigenderedde, ne kikola ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ekibiina ne bwe kinaabanga tekitegedde nti kisobezza, banaabanga bazzizza omusango.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.