Ebikolwa by’Abatume 2:33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 3:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
Read full chapter
Abafiripi 2:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Katonda kyeyava amugulumiza,
n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
Abafiripi 2:7-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
era n’azaalibwa ng’omuntu,
era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
8 (B)ne yeetoowaza,
n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
9 (C)Katonda kyeyava amugulumiza,
n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
Yokaana 3:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
Read full chapter
2 Abakkolinso 5:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira,
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.