Danyeri 7:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge.
Read full chapter
Matayo 12:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
Read full chapter
Matayo 12:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.
Read full chapter
Matayo 12:40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
40 (A)Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro.
Read full chapter
Matayo 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Peetero Ayatula Kristo
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu kitundu kya Kayisaliya ekya Firipo n’abuuza abayigirizwa be nti, “Abantu Omwana w’Omuntu bagamba nti ye ani?”
Read full chapter
Matayo 16:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Kubanga Omwana w’Omuntu anaatera okujja mu kitiibwa kya Kitange ne bamalayika be alyoke asasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali.
Read full chapter
Matayo 16:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 “Ddala ddala mbagamba nti ku mmwe abali wano kuliko abatalirega ku kufa okutuusa lwe baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja n’obwakabaka bwe.”
Read full chapter
Matayo 17:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”
Read full chapter
Matayo 19:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
Read full chapter
Makko 2:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti,
Read full chapter
Makko 8:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Alanga Okufa kwe n’Okuzuukira kwe
31 (A)Awo Yesu n’atandika okubabuulira nti, “Kigwanidde Omwana w’Omuntu okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakadde, ne bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, n’oluvannyuma lw’ennaku ssatu okuzuukira.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.