Danyeri 5:21-23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.
22 (B)“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 (C)Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.