Add parallel Print Page Options

17 (A)Zadooki[a] mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali nga be bakabona, Seroya nga ye muwandiisi,

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:17 Zadooki yali muzzukulu wa Eriyazaali. Yasigala nga musajja wa Dawudi ow’oku lusegere, era oluvannyuma ye yafuka n’amafuta ku musika wa Dawudi, Sulemaani

35 (A)Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.”

Read full chapter

11 (A)Olwo ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo nate kubula newaakubadde okweyonoona n’ebibi byabwe byonna. Baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter

15 (A)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter