Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Read Scripture without ads. Study with fewer distractions with Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Verse of the Day by email. Sign up free.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Ezeekyeri 44  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Omulangira, Abaleevi Ne Bakabona

44 (A)Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. 2 (B)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. 3 (C)Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”

4 (D)Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

5 (E)Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. 6 (F)Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ 7 (G)Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. 8 (H)Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. 9 (I)Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.

10 (J)“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 11 (K)Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 12 (L)Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 13 (M)Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 14 (N)Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.

15 (O)“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda. 16 (P)Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.

17 (Q)“ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. 18 (R)Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. 19 (S)Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.

20 (T)“ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. 21 (U)Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. 22 (V)Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. 23 (W)Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.

24 (X)“ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.

25 (Y)“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. 26 (Z)Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. 27 Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.

28 (AA)“ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. 29 (AB)Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe. 30 (AC)Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. 31 (AD)Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.

Cross references

  1. 44:1 : Ez 43:1
  2. 44:2 : Ez 43:4-5
  3. 44:3 : a Kuv 24:9-11 b Ez 46:2, 8
  4. 44:4 : a Is 6:4; Kub 15:8 b Ez 1:28; 3:23
  5. 44:5 : Ez 40:4; 43:10-11
  6. 44:6 : Ez 3:9
  7. 44:7 : a Lv 26:41 b Lub 17:14; Kuv 12:48; Lv 22:25
  8. 44:8 : Lv 22:2; Kbl 18:7
  9. 44:9 : Yo 3:17; Zek 14:21
  10. 44:10 : a 2Bk 23:8 b Kbl 18:23
  11. 44:11 : a 2By 29:34 b Kbl 3:5-37; 16:9; 1By 26:12-19
  12. 44:12 : a Zab 106:26 b 2Bk 16:10-16
  13. 44:13 : a Ez 16:61 b Kbl 18:3
  14. 44:14 : Kbl 18:4; 1By 23:28-32
  15. 44:15 : Yer 33:18; Ez 40:46; Zek 3:7
  16. 44:16 : a Ez 41:22 b Kbl 18:5
  17. 44:17 : Kuv 39:27-28; Kub 19:8
  18. 44:18 : a Kuv 28:39; Is 3:20 b Kuv 28:42 c Lv 16:4
  19. 44:19 : a Lv 6:27; Ez 46:20 b Lv 6:10-11; Ez 42:14
  20. 44:20 : Lv 21:5; Kbl 6:5
  21. 44:21 : Lv 10:9
  22. 44:22 : Lv 21:7
  23. 44:23 : a Ez 22:26 b Mal 2:7
  24. 44:24 : a Ma 17:8-9; 1By 23:4 b 2By 19:8
  25. 44:25 : Lv 21:1-4
  26. 44:26 : Kbl 19:14
  27. 44:28 : Kbl 18:20; Ma 10:9; 18:1-2; Yos 13:33
  28. 44:29 : a Lv 27:21 b Kbl 18:9, 14
  29. 44:30 : a Kbl 18:12-13 b Kbl 15:18-21 c Mal 3:10 d Nek 10:35-37
  30. 44:31 : Kuv 22:31; Lv 22:8
Next
Ezeekyeri 43
Ezeekyeri 45
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway