Add parallel Print Page Options

(A)“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. (B)Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi.

Read full chapter

70 (A)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (B)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.

Read full chapter

27 (A)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
    era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.

Read full chapter

12 (A)N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 (B)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.

Read full chapter

20 (A)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
    ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.

Read full chapter