Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Finding your way around? See how the new Bible Gateway works. Take the tour.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Understand more as you read. Try Bible Gateway Plus.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

1 Samwiri 16  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi

16 (A)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”

2 Naye Samwiri n’ayogera nti, “Nnaagenda ntya? Sawulo bw’anakiwulira ajja kunzita.” Mukama n’amugamba nti, “Weetwalire ennyana oyogere nti, ‘Nzize kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.’ 3 (B)Yita Yese ajje okuwaayo ssaddaaka, nzija kukulaga eky’okukola. Ojja kufuka amafuta ku oyo gwe nnaaba nnonze.”

4 (C)Samwiri n’akola ekyo Mukama kye yamulagira. Bwe yatuuka e Besirekemu abakulu b’ekibuga ne bakankana olw’okutya bwe baamusisinkana era ne bamubuuza nti, “Ojja mirembe?” 5 (D)N’abaddamu nti, “Weewaawo, mirembe. Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama. Mwetukuze tugende ffenna tuweeyo ssaddaaka.” N’atukuza Yese ne batabani be, n’abayita okujja okuwaayo ssaddaaka.

6 (E)Bwe baatuuka n’atunuulira Eriyaabu, n’alowooza nti, “Mazima Mukama ono gw’afuseeko amafuta, era y’ayimiridde kaakano mu maaso ga Mukama.” 7 (F)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”

8 (G)Awo Yese n’ayita Abinadaabu, n’amuyisa mu maaso ga Samwiri. Naye Samwiri n’ayogera nti, “Oyo naye Mukama si gw’alonze.” 9 Yese n’ayita Samma n’amusimbawo, naye Samwiri n’ayogera nti, “Era n’oyo Mukama si gw’alonze.” 10 Yese n’ayisa batabani be omusanvu mu maaso ga Samwiri, naye Samwiri n’amugamba nti, “Ku bo tekuli n’omu Mukama gw’alonze.” 11 (H)N’abuuza Yese nti, “Bano be batabani bo bokka?” Yese n’addamu nti, “Ekyasigaddeyo asingira ddala obuto, alunda ndiga.” Samwiri n’agamba Yese nti, “Mutumye; tetujja kuweera okutuusa lw’anajja.”

12 (I)N’amutumya, n’aleetebwa. Yali mumyufu, n’amaaso ge nga malungi, era ng’alabika bulungi nnyo. Awo Mukama n’ayogera nti, “Golokoka omufukeko amafuta; ye wuuyo.” 13 (J)Awo Samwiri n’addira ejjembe ly’amafuta, n’agamufukako mu maaso ga baganda be. Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi. Oluvannyuma Samwiri n’addayo e Laama.

Dawudi Aweereza Sawulo

14 (K)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga.

15 Awo abaweereza ba Sawulo ne bamuleetera ekiteeso nti, “Laba, omwoyo omubi okuva eri Katonda gukucocca. 16 (L)Mukama waffe alagire abaweereza be kaakano okumunoonyeza omuntu asobola okukuba entongooli. Omwoyo omubi okuva eri Katonda bwe gunaabanga gukusseeko, bw’anagikubanga n’oddamu endasi, onoowuliranga bulungi n’okkakkana.”

17 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Munfunireyo omuntu asobola okukuba entongooli obulungi, mumundeetere.” 18 (M)Omu ku baweereza n’addamu nti, “Waliwo mutabani wa Yese Omubesirekemu gwe nalaba asobola okukuba entongooli obulungi. Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.” 19 Awo Sawulo n’atuma ababaka eri Yese, ng’agamba nti, “Mpeereza mutabani wo Dawudi, alabirira endiga.” 20 (N)Yese n’addira endogoyi n’agitikka emigaati, n’eccupa y’envinnyo n’omwana gw’embuzi, n’abiweereza wamu ne mutabani we Dawudi eri Sawulo.

21 (O)Dawudi n’atuuka eri Sawulo, n’afuuka omu ku baweereza be. Sawulo n’amwagala nnyo, era n’amufuula omu ku abo abaasitulanga ebyokulwanyisa bye. 22 Awo Sawulo n’atumira Yese ng’agamba nti, “Kkiriza Dawudi asigale ng’omu ku baweereza bange, kubanga nsiimye by’ankolera.”

23 (P)Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.

Cross references

  1. 16:1 : a 1Sa 15:35 b 1Sa 15:23 c 2Bk 9:1 d Lus 4:17; 1Sa 9:16 e Zab 78:70; Bik 13:22
  2. 16:3 : a Kuv 4:15 b Ma 17:15; 1Sa 9:16
  3. 16:4 : a Lub 48:7; Luk 2:4 b 1Bk 2:13; 2Bk 9:17
  4. 16:5 : Kuv 19:10, 22
  5. 16:6 : 1Sa 17:13
  6. 16:7 : a Zab 147:10 b 1Bk 8:39; 1By 28:9; Is 55:8
  7. 16:8 : 1Sa 17:13
  8. 16:11 : 1Sa 17:12
  9. 16:12 : a 1Sa 9:17 b Lub 39:6; 1Sa 17:42
  10. 16:13 : a Kbl 27:18; Bal 11:29 b 1Sa 10:1, 6, 9-10; 11:6
  11. 16:14 : a Bal 16:20 b Bal 9:23; 1Sa 18:10
  12. 16:16 : nny 23; 1Sa 18:10; 19:9; 2Bk 3:15
  13. 16:18 : 1Sa 3:19; 17:32-37
  14. 16:20 : 1Sa 10:27; Nge 18:16
  15. 16:21 : Lub 41:46; Nge 22:29
  16. 16:23 : nny 14-16
Next
1 Samwiri 15
1 Samwiri 17
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway