Add parallel Print Page Options

27 (A)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.

Read full chapter

(A)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”

Read full chapter

(A)“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.

Read full chapter

(A)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

Read full chapter

21 (A)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.

Read full chapter

(A)Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
    naye Mukama y’apima ebigendererwa.

Read full chapter

(A)Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
    naye Mukama agezesa emitima.

Read full chapter