Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

13 (A)Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda.

Read full chapter

23 (A)Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu.

Read full chapter

13 (A)Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu[a] ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa,[b] ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro.

Read full chapter

Notas al pie

  1. 2:13 Omulyango ogwo gwali ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa bbugwe wa Yerusaalemi.
  2. 2:13 Omulyango ogw’Obusa gw’omulyango Abayudaaya gwe baagoberangamu ensolo ez’ekiweebwayo, nga bazitwala mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu (laba 3:13-14; 2Bk 23:10).

13 (A)Kanuni n’abatuuze b’e Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogw’omu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, n’eminyolo gyagwo n’ebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza n’ekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogw’Obusa.

Read full chapter