Add parallel Print Page Options

(A)Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri. (B)Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi.

10 (C)Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri[a],” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni[b].” 11 Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti. 12 Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 27:10 Abayerameeri baali bazzukulu ba Yuda nga bava mu Kezulooni (1By 2:9, 25, 26)
  2. 27:10 Laba mu Bal 4:11

(A)Abaduumizi b’Abafirisuuti ne babuuza nti, “Ate bano Abaebbulaniya bakola ki wano?”

Akisi n’abaddamu nti, “Oyo ye Dawudi, omukungu wa Sawulo kabaka wa Isirayiri. Abadde nange okusukka mu mwaka, era okuva ku lunaku lwe yayabulira Sawulo n’okutuusa leero, sirabanga nsonga ku ye.”

Read full chapter