Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
One verse. Every morning. Get the free Verse of the Day email.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
New Bible Gateway. Take the quick tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

1 Samwiri 27  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Dawudi Asenga mu Bafirisuuti

27 Dawudi n’afumiitiriza mu mutima gwe ng’agamba nti, “Luliba lumu Sawulo n’anzita. Ekisinga obulungi kwe kuddukira mu nsi y’Abafirisuuti. Awo nno Sawulo anaalekeraawo okunnoonyeza mu Isirayiri, era bwe ntyo bwe nzija okumuwona.”

2 (A)Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne basitula ne bagenda eri kabaka Akisi mutabani wa Mawoki ow’e Gaasi. 3 (B)Dawudi n’abasajja be ne basenga mu Gaasi ewa Akisi, buli musajja ne nnyumba ye yonna, ne Dawudi n’abakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri Omukalumeeri, nnamwandu wa Nabali. 4 Awo Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi yaddukira e Gaasi n’alekeraawo okumunoonya.

5 Awo Dawudi n’agamba Akisi nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso go, wabeewo ekifo ekiba kimpebwa mu kimu ku bibuga ebitonotono, ntuule eyo. Lwaki omuweereza wo abeera naawe mu kibuga ekikulu eky’obwakabaka?”

6 (C)Awo ku lunaku olwo, Akisi n’amuwa Zikulagi, era kyekyava kibeera ekibuga kya bakabaka ba Yuda, n’okutuusa leero. 7 (D)Dawudi n’abeera mu nsi ey’Abafirisuuti okumala omwaka gumu n’emyezi ena. 8 (E)Mu bbanga eryo, Dawudi n’abasajja be ne bambuka ne balumba Abagesuli, n’Abagiruzi, n’Abamaleki. Okuva edda n’edda abo be bantu abaabeeranga mu nsi eyo okuva e Suuli okutuuka e Misiri. 9 (F)Dawudi buli lwe yalumbanga ekitundu, teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi, naye yatwalanga endiga, n’ente, endogoyi n’eŋŋamira, n’engoye; n’oluvannyuma n’addayo eri Akisi.

10 (G)Awo Akisi yamubuuzanga nti, “Leero walumbye wa?” Dawudi yaddangamu nti, “Ebukiikaddyo obwa Yuda,” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abayerameeri[a],” oba nti, “Ebukiikaddyo obw’Abakeeni[b].” 11 Teyalekangawo musajja newaakubadde omukazi nga mulamu okubaleeta e Gaasi, kubanga yalowooza nti, “Bakyayinza okutuloopa, nga boogera nti, ‘Dawudi akola kino na kino.’ ” Era eyo ye yali ng’empisa ye, ebbanga lyonna lye yabeera mu nsi ey’Abafirisuuti. 12 Akisi ne yeesiga Dawudi, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Alabika yeetamiddwa abantu be Abayisirayiri, kale kyanaava afuuka omuweereza wange emirembe gyonna.”

Footnotes

  1. 27:10 Abayerameeri baali bazzukulu ba Yuda nga bava mu Kezulooni (1By 2:9, 25, 26)
  2. 27:10 Laba mu Bal 4:11

Cross references

  1. 27:2 : a 1Sa 25:13 b 1Sa 21:10 c 1Bk 2:39
  2. 27:3 : 1Sa 25:43; 30:3
  3. 27:6 : Yos 15:31; 19:5; Nek 11:28
  4. 27:7 : 1Sa 29:3
  5. 27:8 : a Yos 13:2, 13 b Kuv 17:8; 1Sa 15:7-8 c Kuv 15:22
  6. 27:9 : 1Sa 15:3
  7. 27:10 : a 1Sa 30:29; 1By 2:9, 25 b Bal 1:16
Next
1 Samwiri 26
1 Samwiri 28
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway