1 Samwiri 16:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, “Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.”
Read full chapter
Zabbuli 33:16-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (B)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.