Add parallel Print Page Options

15 (A)Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli,

Read full chapter

20 (A)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.”

Read full chapter

(A)Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”

Read full chapter

(A)Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi[a] bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:2 Baaluzebubi kitegeeza “mukama w’ensowera.” Erinnya eryo likozesebwa okunyooma katonda w’Abakanani ayitibwa Beeruzebuli (omulangira w’abadayimooni) mu Matayo 10:25; 12:27.

(A)Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.”

Read full chapter