Matayo 26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olukwe olw’Okutta Yesu
26 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, 2 (B)“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
3 (C)Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, 4 (D)nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. 5 (E)Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
6 (F)Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 (G)Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 (H)Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
14 (I)Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 (J)N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
Ekyekiro kya Mukama Waffe
17 (K)Awo ku lunaku olusooka mu nnaku ez’Embaga ey’Emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Embaga y’Okuyitako tukugiteekereteekere wa?”
18 (L)Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mu kibuga ewa ‘Gundi,’ mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti: Ekiseera kyange kituuse, era Embaga ey’Okuyitako njagala kugiriira mu maka go awamu n’abayigirizwa bange.’ ” 19 Abayigirizwa ne bagenda ne bakola nga Yesu bwe yabalagira ne bateekateeka Okuyitako.
20 Akawungeezi ako Yesu bwe yali ng’atudde 21 (M)ku mmere n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, nga balya n’abagamba nti, “Omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”
22 Bwe baakiwulira emitima ne gibeewanika, buli omu n’abuuza nti, “Ye nze?”
23 (N)Yesu n’addamu nti, “Akozezza nange mu kibya, y’oyo. 24 (O)Mutegeere nti Omwana w’Omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikibwako, naye zimusanze omuntu oyo agenda okulya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalirwa ddala.”
25 (P)Yuda anaamulyamu olukwe n’amubuuza nti, “Ddala ddala, ye nze Labbi?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
26 (Q)Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”
27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 (R)kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 (S)Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”
30 (T)Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana
31 (U)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.
“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba
n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’
32 (V)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”
34 (W)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 (X)Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.
Gesusemane
36 Awo Yesu n’agenda nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane n’abagamba nti, “Mutuule wano okutuusa lwe nnaamala okusaba nkomewo.” 37 (Y)N’atwala Peetero ne batabani ba Zebbedaayo bombi, n’atandika, okuwulira ennaku nnyingi n’okweraliikirira ennyo. 38 (Z)N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku egenda na kunzita. Kale mubeere wano tutunule ffenna.”
39 (AA)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
40 (AB)N’addayo eri abayigirizwa be n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Peetero, naawe tosobodde kutunula nange n’essaawa emu? 41 (AC)Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!”
42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43 N’akomawo nate gye bali n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gazitowa nga gajjudde otulo. 44 N’abaleka n’agenda asaba ebigambo bye bimu nga biri.
45 (AD)Ate n’akomawo awali abayigirizwa n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala, muwummule. Kyokka mumanye ng’ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 46 Muzuukuke! Musituke tugende! Laba, omuntu agenda okundyamu olukwe wuuli ajja!”
Yesu Akwatibwa
47 Laba Yesu yali akyayogera Yuda omu ku kkumi n’ababiri, n’atuuka ng’alina ekibiina ky’abantu abaali babagalidde ebitala n’emiggo nga batumiddwa bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya. 48 Eyali agenda okumulyamu olukwe yali abategeezezza akabonero nti omuntu gw’anaalamusa nga y’oyo gwe baali beetaaga, nga bamukwata. 49 (AE)Amangwago n’ajja eri Yesu n’amulamusa nti, “Mirembe, Labbi,” n’amugwa mu kifuba.
50 (AF)Yesu kwe kumugamba nti. “Munnange, kola ky’ojjiridde.”[b] Awo abalala ne bakwata Yesu.
51 (AG)Omuntu omu ku abo abaali ne Yesu n’asowolayo ekitala kye n’asalako okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
52 (AH)Naye Yesu n’amulagira nti, “Ekitala kyo kizzeeyo mu kiraato kyakyo. Kubanga abo abakozesa ebitala nabo bagenda kuttibwa na kitala. 53 (AI)Tomanyi nti nnyinza okusaba Kitange bamalayika nkumi na nkumi okujja okutulwanirira? 54 (AJ)Naye singa nkola bwe ntyo, olwo Ebyawandiikibwa, ebyogera ku bino ebiriwo kaakano, binatuukirira bitya?”
55 (AK)Mu kiseera ekyo Yesu n’abuuza ekibiina nti, “Ndi ng’omumenyi w’amateeka ow’akabi ennyo, n’okujja ne mujja okunkwata nga mubagalidde ebitala n’emiggo? Nabeeranga nammwe nga njigiriza mu Yeekaalu buli lunaku, ne mutankwata. 56 (AL)Naye kino kibaddewo okutuukiriza ebigambo bya bannabbi ebiri mu Byawandiikibwa.” Olwo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira ne badduka.
Yesu mu maaso g’Olukiiko
57 (AM)Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 (AN)Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 (AO)Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 (AP)Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 (AQ)abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”
62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 (AR)Naye Yesu n’asirika busirisi.
Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64 (AS)Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 (AT)Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 (AU)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”
67 (AV)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 (AW)nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
Peetero Yeegaana Yesu
69 Mu kiseera ekyo Peetero yali atudde mu luggya. Awo omuweereza omuwala n’ajja awali Peetero n’amugamba nti, “Wali wamu ne Yesu, ow’e Ggaliraaya.”
70 Naye Peetero ne yeegaana mu maaso ga buli omu ng’agamba nti, “Ky’oyogerako sikimanyi.”
71 Oluvannyumako nga Peetero ayimiridde okumpi n’oluggi olunene oluva mu luggya, omuwala omulala n’amulaba, n’agamba abo abaali bayimiridde awo nti, “Omusajja ono yali ne Yesu ow’e Nazaaleesi.”
72 Peetero era n’akyegaana, nga kw’atadde n’okulayira nga bw’agamba nti, “Nze oyo n’okumumanya simumanyi.”
73 Naye nga wayiseewo akabanga, abasajja abaali bayimiridde awo ne bajja w’ali, ne bamugamba nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga otegeerekeka olw’enjogera yo.”
74 Peetero n’atandika okulayira nate, ne yeeyongera okwegaana ng’agamba nti, “Omuntu simumanyi.” Amangwago enkoko n’ekookolima.
75 (AX)Awo Peetero n’ajjukira ebigambo bya Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima onoonneegaana emirundi esatu.” N’afuluma ebweru ng’akaaba nnyo amaziga.
Matthew 26
New King James Version
The Plot to Kill Jesus(A)
26 Now it came to pass, when Jesus had finished all these sayings, that He said to His disciples, 2 (B)“You know that after two days is the Passover, and the Son of Man will be delivered up to be crucified.”
3 (C)Then the chief priests, [a]the scribes, and the elders of the people assembled at the palace of the high priest, who was called Caiaphas, 4 and (D)plotted to take Jesus by [b]trickery and kill Him. 5 But they said, “Not during the feast, lest there be an uproar among the (E)people.”
The Anointing at Bethany(F)
6 And when Jesus was in (G)Bethany at the house of Simon the leper, 7 a woman came to Him having an alabaster flask of very costly fragrant oil, and she poured it on His head as He sat at the table. 8 (H)But when His disciples saw it, they were indignant, saying, “Why this waste? 9 For this fragrant oil might have been sold for much and given to the poor.”
10 But when Jesus was aware of it, He said to them, “Why do you trouble the woman? For she has done a good work for Me. 11 (I)For you have the poor with you always, but (J)Me you do not have always. 12 For in pouring this fragrant oil on My body, she did it for My (K)burial. 13 Assuredly, I say to you, wherever this gospel is preached in the whole world, what this woman has done will also be told as a memorial to her.”
Judas Agrees to Betray Jesus(L)
14 (M)Then one of the twelve, called (N)Judas Iscariot, went to the chief priests 15 and said, (O)“What are you willing to give me if I deliver Him to you?” And they counted out to him thirty pieces of silver. 16 So from that time he sought opportunity to betray Him.
Jesus Celebrates Passover with His Disciples(P)
17 (Q)Now on the first day of the Feast of the Unleavened Bread the disciples came to Jesus, saying to Him, “Where do You want us to prepare for You to eat the Passover?”
18 And He said, “Go into the city to a certain man, and say to him, ‘The Teacher says, (R)“My time is at hand; I will keep the Passover at your house with My disciples.” ’ ”
19 So the disciples did as Jesus had directed them; and they prepared the Passover.
20 (S)When evening had come, He sat down with the twelve. 21 Now as they were eating, He said, “Assuredly, I say to you, one of you will (T)betray Me.”
22 And they were exceedingly sorrowful, and each of them began to say to Him, “Lord, is it I?”
23 He answered and said, (U)“He who dipped his hand with Me in the dish will betray Me. 24 The Son of Man indeed goes just (V)as it is written of Him, but (W)woe to that man by whom the Son of Man is betrayed! (X)It would have been good for that man if he had not been born.”
25 Then Judas, who was betraying Him, answered and said, “Rabbi, is it I?”
He said to him, “You have said it.”
Jesus Institutes the Lord’s Supper(Y)
26 (Z)And as they were eating, (AA)Jesus took bread, [c]blessed and broke it, and gave it to the disciples and said, “Take, eat; (AB)this is My body.”
27 Then He took the cup, and gave thanks, and gave it to them, saying, (AC)“Drink from it, all of you. 28 For (AD)this is My blood (AE)of the [d]new covenant, which is shed (AF)for many for the [e]remission of sins. 29 But (AG)I say to you, I will not drink of this fruit of the vine from now on (AH)until that day when I drink it new with you in My Father’s kingdom.”
30 (AI)And when they had sung a hymn, they went out to the Mount of Olives.
Jesus Predicts Peter’s Denial(AJ)
31 Then Jesus said to them, (AK)“All of you will (AL)be [f]made to stumble because of Me this night, for it is written:
(AM)‘I will strike the Shepherd,
And the sheep of the flock will be scattered.’
32 But after I have been raised, (AN)I will go before you to Galilee.”
33 Peter answered and said to Him, “Even if all are [g]made to stumble because of You, I will never be made to stumble.”
34 Jesus said to him, (AO)“Assuredly, I say to you that this night, before the rooster crows, you will deny Me three times.”
35 Peter said to Him, “Even if I have to die with You, I will not deny You!”
And so said all the disciples.
The Prayer in the Garden(AP)
36 (AQ)Then Jesus came with them to a place called Gethsemane, and said to the disciples, “Sit here while I go and pray over there.” 37 And He took with Him Peter and (AR)the two sons of Zebedee, and He began to be sorrowful and deeply distressed. 38 Then He said to them, (AS)“My soul is exceedingly sorrowful, even to death. Stay here and watch with Me.”
39 He went a little farther and fell on His face, and (AT)prayed, saying, (AU)“O My Father, if it is possible, (AV)let this cup pass from Me; nevertheless, (AW)not as I will, but as You will.”
40 Then He came to the disciples and found them sleeping, and said to Peter, “What! Could you not watch with Me one hour? 41 (AX)Watch and pray, lest you enter into temptation. (AY)The spirit indeed is willing, but the flesh is weak.”
42 Again, a second time, He went away and prayed, saying, “O My Father, [h]if this cup cannot pass away from Me unless I drink it, Your will be done.” 43 And He came and found them asleep again, for their eyes were heavy.
44 So He left them, went away again, and prayed the third time, saying the same words. 45 Then He came to His disciples and said to them, “Are you still sleeping and resting? Behold, the hour [i]is at hand, and the Son of Man is being (AZ)betrayed into the hands of sinners. 46 Rise, let us be going. See, My betrayer is at hand.”
Betrayal and Arrest in Gethsemane(BA)
47 And (BB)while He was still speaking, behold, Judas, one of the twelve, with a great multitude with swords and clubs, came from the chief priests and elders of the people.
48 Now His betrayer had given them a sign, saying, “Whomever I kiss, He is the One; seize Him.” 49 Immediately he went up to Jesus and said, “Greetings, Rabbi!” (BC)and kissed Him.
50 But Jesus said to him, (BD)“Friend, why have you come?”
Then they came and laid hands on Jesus and took Him. 51 And suddenly, (BE)one of those who were with Jesus stretched out his hand and drew his sword, struck the servant of the high priest, and cut off his ear.
52 But Jesus said to him, “Put your sword in its place, (BF)for all who take the sword will [j]perish by the sword. 53 Or do you think that I cannot now pray to My Father, and He will provide Me with (BG)more than twelve legions of angels? 54 How then could the Scriptures be fulfilled, (BH)that it must happen thus?”
55 In that hour Jesus said to the multitudes, “Have you come out, as against a robber, with swords and clubs to take Me? I sat daily with you, teaching in the temple, and you did not seize Me. 56 But all this was done that the (BI)Scriptures of the prophets might be fulfilled.”
Then (BJ)all the disciples forsook Him and fled.
Jesus Faces the Sanhedrin(BK)
57 (BL)And those who had laid hold of Jesus led Him away to Caiaphas the high priest, where the scribes and the elders were assembled. 58 But (BM)Peter followed Him at a distance to the high priest’s courtyard. And he went in and sat with the servants to see the end.
59 Now the chief priests, [k]the elders, and all the council sought (BN)false testimony against Jesus to put Him to death, 60 [l]but found none. Even though (BO)many false witnesses came forward, they found none. But at last (BP)two [m]false witnesses came forward 61 and said, “This fellow said, (BQ)‘I am able to destroy the temple of God and to build it in three days.’ ”
62 (BR)And the high priest arose and said to Him, “Do You answer nothing? What is it these men testify against You?” 63 But (BS)Jesus kept silent. And the high priest answered and said to Him, (BT)“I put You under oath by the living God: Tell us if You are the Christ, the Son of God!”
64 Jesus said to him, “It is as you said. Nevertheless, I say to you, (BU)hereafter you will see the Son of Man (BV)sitting at the right hand of the Power, and coming on the clouds of heaven.”
65 (BW)Then the high priest tore his clothes, saying, “He has spoken blasphemy! What further need do we have of witnesses? Look, now you have heard His (BX)blasphemy! 66 What do you think?”
They answered and said, (BY)“He is deserving of death.”
67 (BZ)Then they spat in His face and beat Him; and (CA)others struck Him with [n]the palms of their hands, 68 saying, (CB)“Prophesy to us, Christ! Who is the one who struck You?”
Peter Denies Jesus, and Weeps Bitterly(CC)
69 (CD)Now Peter sat outside in the courtyard. And a servant girl came to him, saying, “You also were with Jesus of Galilee.”
70 But he denied it before them all, saying, “I do not know what you are saying.”
71 And when he had gone out to the gateway, another girl saw him and said to those who were there, “This fellow also was with Jesus of Nazareth.”
72 But again he denied with an oath, “I do not know the Man!”
73 And a little later those who stood by came up and said to Peter, “Surely you also are one of them, for your (CE)speech betrays you.”
74 Then (CF)he began to [o]curse and [p]swear, saying, “I do not know the Man!”
Immediately a rooster crowed. 75 And Peter remembered the word of Jesus who had said to him, (CG)“Before the rooster crows, you will deny Me three times.” So he went out and wept bitterly.
Footnotes
- Matthew 26:3 NU omits the scribes
- Matthew 26:4 deception
- Matthew 26:26 M gave thanks for
- Matthew 26:28 NU omits new
- Matthew 26:28 forgiveness
- Matthew 26:31 caused to take offense at Me
- Matthew 26:33 caused to take offense at You
- Matthew 26:42 NU if this may not pass away unless
- Matthew 26:45 has drawn near
- Matthew 26:52 M die
- Matthew 26:59 NU omits the elders
- Matthew 26:60 NU but found none, even though many false witnesses came forward.
- Matthew 26:60 NU omits false witnesses
- Matthew 26:67 Or rods,
- Matthew 26:74 call down curses
- Matthew 26:74 Swear oaths
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Scripture taken from the New King James Version®. Copyright © 1982 by Thomas Nelson. Used by permission. All rights reserved.
