历代志下 6
Chinese New Version (Simplified)
所罗门宣告建殿的理由(A)
6 那时所罗门说:
“耶和华曾说他要住在幽暗之中。
2 我已经为你建造了巍峨的殿宇,
作你永远居住的地方。”
3 然后王转过来,给以色列全体会众祝福,以色列全体会众都站着。
4 所罗门说:“耶和华以色列的 神是应当称颂的!他亲口对我的父亲大卫应许的,已亲手作成了,他说: 5 ‘自从我领我的子民从埃及地出来的那天,我没有在以色列众支派中,拣选一座城建造殿宇,使我的名留在那里;我也没有拣选一个人作领袖,统治我的子民以色列。 6 我却拣选了耶路撒冷,使我的名留在那里;也拣选了大卫,统治我的子民以色列。’ 7 我的父亲大卫有心要为耶和华以色列的 神的名建造殿宇。 8 耶和华却对我的父亲大卫说:‘你心想要为我的名建造殿宇,你心意很好; 9 不过不是由你建造殿宇,而是你的儿子,你亲生的儿子,他必为我的名建殿。’ 10 现在耶和华实现了他所说过的话,我已经起来接续我的父亲大卫,坐上了以色列的王位,就像耶和华所说的;我为耶和华以色列的 神的名建造了这殿。 11 我也把约柜安放在殿里,约柜中有耶和华和以色列人所立的约。”
所罗门献殿的祷告(B)
12 所罗门在以色列全体会众面前,站在耶和华的祭坛前,张开双手; 13 原来所罗门做了一座铜台,长两公尺两公寸,宽两公尺两公寸,高一公尺三公寸,安放在外院中。那时他站在铜台上,在以色列全体会众面前,屈膝下跪,向天张开双手, 14 说:“耶和华以色列的 神啊,天上地下没有神可以和你相比的,你向那些一心行在你面前的仆人,常是守约施慈爱的; 15 你对你的仆人我父亲大卫所应许的,你都遵守了,你亲口应许,也亲手成全,就像今日一样。 16 耶和华以色列的 神啊,你应许你的仆人我父亲大卫说:‘只要你的子孙谨守他们的行为,遵守我的律法,像你在我面前所行的一样,你就不会断人在我面前坐上以色列的王位。’现在求你应验这话吧。 17 耶和华以色列的 神啊,现在求你实现你向你的仆人大卫应许的话吧!
18 “ 神真的要和人住在地上吗?看哪,天和天上的天也容不下你,何况我建造的这殿呢? 19 耶和华我的 神啊,求你垂注你仆人的祷告和祈求,聆听你仆人在你面前所发的呼喊和祷告。 20 求你张开眼睛,昼夜看顾这殿,就是看顾你所说要立你名的地方;求你垂听你仆人向着这地方所发的祷告。 21 求你垂听你的仆人和你的子民以色列的祈求,就是他们向着这地方所发的祷告;求你从天上,从你的居所垂听,垂听和赦免。
22 “人若是得罪了邻舍,有人要他起誓,他就来到这殿,在你的祭坛前起誓; 23 求你从天上垂听,施行你的作为,审判你的仆人,照着恶人所行的报应在他头上;宣告义人无罪,照着他的义行赏赐他。
24 “如果你的子民以色列得罪了你,以致在仇敌面前被击败;后来回心转意,承认你的名,在这殿里向你祷告祈求, 25 求你从天上垂听,赦免你子民以色列的罪,领他们归回你赐给他们和他们列祖的土地。
26 “你的子民因得罪了你,你惩罚他们,使天闭塞不下雨;如果他们向着这地方祷告,承认你的名,离开他们的罪, 27 求你在天上垂听,赦免你的仆人和你的子民以色列的罪,把他们当行的正道指教他们,降雨在你的地上,就是你赐给你的子民作产业的地上。
28 “国中若是有饥荒、瘟疫、旱风、霉烂、蝗虫、蚂蚱,或是有仇敌围困城镇,或是有甚么灾祸,甚么疾病, 29 你的子民以色列,无论是个别或是全体,自知自己的灾祸和痛苦,向着这殿张开双手祷告或祈求, 30 求你从天上你的居所垂听和赦免他们,你是知道人心的,你必照着各人所行的报应各人;因为只有你知道世人的心。 31 使他们在你赐给我们列祖的地上,一生一世敬畏你,遵行你的道路。
32 “至于在你的子民以色列以外的外族人,他们为了你的大名、你大能的手和伸出来的膀臂,从远方而来;他们来向着这殿祷告的时候, 33 求你从天上,从你的居所垂听他们,照着外族人向你呼求的一切而行,使地上万民都认识你的名,敬畏你,像你的子民以色列一样;又使他们知道我建造的这殿,是奉为你名的所在。
34 “如果你的子民在你派他们出去的路上,和仇敌作战,他们向着你拣选的这城,和向着我为你的名建造的这殿向你祷告, 35 求你从天上垂听他们的祷告祈求,使他们得胜。
36 “如果你的子民得罪了你(因为世上没有不犯罪的人),你向他们发怒,把他们交在仇敌面前,以致仇敌把他们掳到外地或远或近; 37 如果他们在被掳去的地方回心转意,在被掳去的地方祈求你说:‘我们犯了罪了,我们作了孽了,我们行了恶了。’ 38 如果他们在被掳去的地方一心一意归向你,又向着他们自己的地,就是你赐给他们列祖的地,和向着你拣选的这城,以及向着我为你的名建造的这殿祷告, 39 求你从天上,从你的居所垂听他们的祷告祈求,为他们伸冤,赦免得罪了你的那些子民。
40 “我的 神啊,现在求你张开眼睛,求你的耳朵垂听在这地方献上的祷告。 41 现在,耶和华 神啊,求你起来,愿你和你有大能的约柜进入你安息的地方;耶和华 神啊,愿你的祭司都披上救恩;愿你的圣民在福乐中欢欣。 42 耶和华 神啊,求你不要转脸不顾你所膏的人:愿你记念你向你仆人大卫所施的慈爱。”
2 Ebyomumirembe 6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “Mukama eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte; 2 (B)nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”
3 Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa. 4 N’ayogera nti,
“Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti,
5 “ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 6 (C)Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’
7 (D)“Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 8 Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo, 9 naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’
10 “Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu. 11 (E)Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.”
Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwonga Eyeekaalu
12 Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye. 13 (F)Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu. 14 (G)N’ayogera nti,
“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna. 15 (H)Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero.
16 (I)“Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’ 17 Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire.
18 (J)“Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu? 19 Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli. 20 (K)Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino. 21 (L)Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga.
22 (M)“Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 23 (N)owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga.
24 (O)“Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno, 25 kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
26 (P)“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo, 27 (Q)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.
28 (R)“Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki, 29 ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno, 30 (S)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu; 31 (T)balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32 (U)“Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno, 33 (V)kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.
34 (W)“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo, 35 kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu.
36 (X)“Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi, 37 (Y)oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’ 38 era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo, 39 kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.
40 (Z)“Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino.
41 (AA)“Era kaakano, Ayi Mukama Katonda golokoka, okke mu kifo kyo
eky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go.
Bakabona bo Ayi Mukama Katonda, bambazibwe obulokozi,
era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo.
42 (AB)Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta.
Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”
Chinese New Version (CNV). Copyright © 1976, 1992, 1999, 2001, 2005 by Worldwide Bible Society.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.