历代志上 25
Chinese New Version (Simplified)
大卫设立唱歌的人
25 大卫和军队的领袖,也给亚萨、希幔和耶杜顿的子孙分派了任务,叫他们用琴瑟响钹说预言。他们任职的人数如下: 2 亚萨的儿子有撒刻、约瑟、尼探雅和亚萨利拉;亚萨的儿子都归亚萨指挥,遵照王的旨意说预言。 3 至于耶杜顿,他的儿子有基大利、西利、耶筛亚、示每、哈沙比雅和玛他提雅,共六人,都归他们
的父亲耶杜顿指挥。耶杜顿用琴说预言,称谢和赞美耶和华。 4 至于希幔,他的儿子有布基雅、玛探雅、乌薛、细布业、耶利摩、哈拿尼雅、哈拿尼、以利亚他、基大利提、罗幔提.以谢、约施比加沙、玛罗提、何提和玛哈秀。 5 这些人都是希幔的儿子;希幔是王的先见,照着 神的话高举他(“高举他”原文作“高举角”)。 神赐给希幔十四个儿子,三个女儿。 6 这些人都归他们的父亲指挥,在耶和华的殿里歌颂,用响钹和琴瑟在 神的殿事奉。亚萨、耶杜顿和希幔都是由王指挥的。 7 他们和他们的亲族,在歌颂耶和华的事上受过特别训练,精于歌唱的,人数共有二百八十八人。 8 这些人,无论大小,不分师生,都一同抽签分班次。
共分二十四班
9 第一签抽出来的是亚萨的儿子约瑟;第二签是基大利,他和他的兄弟、儿子,共十二人; 10 第三签是撒刻,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 11 第四签是伊洗利,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 12 第五签是尼探雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 13 第六签是布基雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 14 第七签是耶撒利拉,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 15 第八签是耶筛亚,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 16 第九签是玛探雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 17 第十签是示每,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 18 第十一签是亚萨烈,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 19 第十二签是哈沙比雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 20 第十三签是书巴业,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 21 第十四签是玛他提雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 22 第十五签是耶利摩,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 23 第十六签是哈拿尼雅,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 24 第十七签是约施比加沙,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 25 第十八签是哈拿尼,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 26 第十九签是玛罗提,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 27 第二十签是以利亚他,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 28 第二十一签是何提,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 29 第二十二签是基大利提,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 30 第二十三签是玛哈秀,他和他的儿子、兄弟,共十二人; 31 第二十四签是罗幔提.以谢,他和他的儿子、兄弟,共十二人。
1 Ebyomumirembe 25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abayimbi
25 (A)Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
2 Ku batabani ba Asafu:
Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.
3 (B)Ku batabani ba Yedusuni:
Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.
4 Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka:
Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. 5 Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.
6 (C)Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka. 7 Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. 8 (D)Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.
9 (E)Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
10 akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
11 akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
12 akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
13 ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
14 ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
15 ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
16 ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
17 ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
18 ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
19 ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
20 ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
21 ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
22 ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
23 ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
24 ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
25 ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
26 ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
27 ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
28 ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
29 ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
30 ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
31 (F)ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.
Chinese New Version (CNV). Copyright © 1976, 1992, 1999, 2001, 2005 by Worldwide Bible Society.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.